Police mu Disitulikiti y’ e Kamuli egombyemu obwala omusajja wa myaka 35 agambibwa okukabasanya abaana basatu nga abasuubizza okubawa ssikaala okusomera obwereere .
Sseduvutto ono amanyiddwa nga Omulongo Eddy Waiswa agambibwa okukkira abawala bano basatu abali wakati w’emyaka 8 ne 13 nga bonna bano bamulekwa n’abagogombola obugogo .
Kigambibwa nti omusajja ono yaperereza omuntu avunaanyizibwa ku baana bano abamuwe kubanga yali abafunidde omuzira kisa agenda okubayambako ku bisale by’essomero .