Assistant Inspector General of Police Grace Turyagumanawe awumudde emirimu gya Uganda Police Force olunaku olwaleero oluvannyuma lw’okuweereza emyaka 33 ngaweereza.
Turyagumanawe abadde akulira Directorate of Peace and Support Operations ekyatandikibwawo mu 2014. Ono yebazizza banne babadde akola nabo wamu ne Mukama Katonda olw’okumusobozesa okutuukiriza emirimu gye.
Turyagumanawe yetondedde abo bonna bayinza okuba nga yanyiiza bweyali atuukiriza emirimu mu ngeri emu oba endala era nategeeza nti kino tekyali kigenderere yali akola mulimu gwe.
Ono yakolako nga Officer in Charge (OC) e Mukono, Lugazi, District Police Commander e Kalangala ne Luweero. Yakola mu Traffic era natwalibwa ku kitebe kya Poliisi oluvannyuma natwalibwa mu bifo ebyobukulembeze mu Poliisi nga Regional Police Commander e Hoima, Central Region, Commandant VIPPU n’oluvannyuma nafuulibwa Director Operations Uganda Police.
Ono offiisi agikwasizza Commissioner of Police Amoru Martin atandikire wakomye.