Akabenje katuze omu, 2 bapookya – Tirinyi

Omuntu omu afiiriddewo mbulaga ate abalala babiri baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi . 

Omusasi waffe Waki Moses atutegeezezza nti Kamunye etomedde Bodaboda ebadde etisse abantu babiri era ye abadde agivuga Mboja Wilber afiiriddewo. Bano bonsatule batuuze ku kyalo Kyali ekisangibwa mu ggombolola  y’e Budaka mu Disitulikiti y’e Budaka .

Leave a Reply