Waliwo omukazi atategeerekese mannya ge naye nga atemera mu gy'obukulu ana (40) atomeddwa emmotoka ebadde ewenyuka obuweewo n'afiirawo ku kyalo Kiryowa ekisangibwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo – Nakasongola .
Abeerabidde n'agaabwe ng'akabenje kano kagwawo bagamba nti kavudde ku kuvugisa kimama omugoba w'e mmotoka bwemulemeredde n'atomera omukazi okukkakkana nga z'embuyaga ezikaza engoye.
Aduumira Police mu kitundu kino, Mongasha atutegeezezza nti omugoba wa mmotoka eno agombeddwamu obwala era ali mu mikono gya Police ate gwo omulambo gw'omukazi gutwaliddwa mu ggwanika bongere okugwekebejja.