Nampala w’Ababaka ba National Resistance Movement – NRM Hamson Obua ategeezezza nti Ababaka mu kabondo ka NRM bwebasisinkanye bakirizza okuwagira ekiteeso mu bbago eriteekebwateekebwa nti abasirikale bonna abakyali mu buweereza abamenya amateeka bakusooka kuvunaanibwa nga mu Kkooti y’Amaggye wabula nti bakubeera nga n’omukisa okujjulira ku bibonerezo ebibaweereddwa mu Kkooti zabulijjo.
Munnoongosereza eno era; omuntu wabulijjo anasangibwanga nekyokulwanyisa nga teyakifuna mu mateeka wakuvunaanibwanga mu Kkooti y’Amaggye wabula ngalina eddembe okujjulira mu Kkooti eyabulijjo.
“That civilians who acquired specified fire arms illegally be tried by the Military Court Martial in the first instance, with the right of appeal through the civilian courts. That provision be made to provide for rights of appeal from decisions of courts martial to civilian courts,” read in part Obua’s statement.