Akakiiko ka Omulamuzi Catherine Bamugemereire akanoonyereza ku by’ettaka kakunyizza omukungu wa Gavumenti ku ngeri gye yasasulwamu obukadde 900 okuva mu nsawo ya ‘Land Fund’, kyokka ng’ettaka lyatunda lijjudde nsozi n’emigga. James Ssaka, akulira ekitongole kya National Information Technology Authority y’omu ku balina ettaka e Bugangaizi mu disitulikiti y’e Kibaale Gavumenti be yasasula baleme kugoba basenze ku ttaka. Ssaka ne baganda be balina mayiro nnamba (yiika 640) e Bugangaizi.
Nga ku yiika 448 kwaliko basenze ate ekitundu ekisigadde nga kya nsozi na migga era nga tekuli musenze n’omu. Ssaka bwe yali asaba Gavumenti okumusasula ettaka baalyawulamu ebitundu bibiri ng’okwali abasenze baamusasula obukadde 448 kyokka ekitundu ekitono okwali obusozi n’emigga ne bamusasulamu obukadde 480.
Looya w’akakiiko, Ebert Byenkya yagambye nti ssente zino zaateekebwawo kuyamba basenze butasengulwa ku ttaka nga Gavumenti erigula ku bannannyini lyo kyokka Ssaka yafera Gavumenti n’agiguza ensozi n’emigga abantu kwe bataali nga naye limulemeredde kubanga tewali kyosobola kulikolerako.
Ssaka yagambye nti, Gavumenti bwe yali essaawo ssente za ‘Land Fund’, teyayawulamu bika bya ttaka by’eyagala era naye kye yava alitunda. Ku ky’okumusasula ssente empitirivu mu ttaka okutudde obusozi n’omugga, Ssaka yagambye nti ekyo kirina kubuuzibwa mubalirizi wa Gavumenti kubanga ye yabalirira ssente ezigya mu ttaka lye.