Akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa katandise okunoonyereza ku Minisita Namuganza

Akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa mu Babaka katandise eddimu ly’okunoonyereza ku Mubeezi wa Minisita ow’ebyettaka, Persis Namuganza ku bigambibwa nti yavaayo navvola akakiiko akaatekebwawo Palamenti okunoonyereza ku mivuyo egyetobeka mu ttaka lye Nakawa-Naguru.
Kigambibwa nti Namuganza nga asinziira ku mikutu gya ttiivi egy’enjawulo yakuba ebituli mu Kakiiko kano era nakalumiriza okuba nekyekubira awamu n’okumulwanyisa.
Leave a Reply