Akakiiko k’ettaka akakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereire olunaku
lw’eggulo katandise mu butongole emirimu gyako egy’omwaka guno. Akakiiko
emirimu kagitandise n’okuwuliriza alipoota y’abapunta eyakoleddwa ku
ttaka ly’e Namavundu munna NRM Sarah Kalenge ly’akaayanira.
Ettaka lino liwerako yiika ezisoba mu 150 era nga liriko n’amaka agasoba mu 100.