Enkya ya leero bannayuganda bakedde kweyuna bifo bironderwamu okusuula akalulu ka ba Ssentebe ba zi disitulikiti, Meeya wa Kampala wamu ne ba Kansala abakiika obutereevu ku disitulikiti.
Ku mulundi guno obutafaananako ne ku ka Pulezidenti n’ababaka ba palamenti abantu lwebaali abangi mu bifo awalonderwa, Leero mu bifo ebisinga wonna mu ggwanga abalonzi bazze mu ngeri ya kimpoowooze so nga ebikozesebwa mu kulonda byatuuse mu budde ebitundu ebisinga mu ggwanga.