Akeediimo k’abalamuzi katandise olwaleero wonna mu ggwanga nga batadde ebikola wansi oluvannyuma lw’ennaku 30 okuggwako zebaawa Gavumenti okubongeza omusaala.
Pulezidenti w’ekibiina omwegattira abalamuzi ekya Uganda Judicial Officers Association (UJOA), His Worship Godfrey Kaweesa agamba nti abalamuzi basasulwa omusaala mutono nnyo ate nga n’ebikozesebwa ebirala nga emmotoka nabyo bya kusimbira kaggo.
Wabula ye ayogerera ekitongole ekiramuzi Solomon Mwita agamba nti bakola kyonna ekisoboka okulaba nga abalamuzi baddamu okukakkalabya emirimu.