AKON AZZE MU YUGANDA:
Omuyimbi ow’erinnya Munnansi wa Senegal Mw. Aliaune Damala Thiam aka AKON atuuse mu Yuganda enkya yaleero ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe. Akon nga muyimbi era omusinga nsimbi azze ku nsonga ya bizinensi mu Yuganda nga Mukyala we Muky. Rozina Negusir yeyasooka okujja mu Yuganda ku ntandikwa y’omwaka guno era nafuna n’omukisa ogusisinkana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni neboogera ku bizinensi ez’enjawulo zebasobola okukola mu Yuganda.
Akon ayaniriziddwa Mw. Abbey Walusimbi, Senior Presidential Advisor on Diaspora Affairs, Omuyimbi era Tourism Ambassador Ediriisa Musuuza aka Eddy Kenzo, abakungu okuva mu Minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Uganda Tourism Board, wamu ne Sheik Ramadhan Mulindwa okuva mu Uganda Muslim Supreme Council – UMSC.
Akon asuubirwa okusisinkana Pulezidenti Museveni boogere ku ngeri gyayinza okusigamu ensimbi mu Yuganda.
Mu 2018, Akon yalangirira nga bwagenda okuzimba ekibuga mu Senegal ekigenda okuyitibwa ‘Akon City’. Ono nga awagirwa Gavumenti ya Senegal, wakuzimba ekibuga ekiweza hectare 800 nga kikozesa Solar nga muno mwakubeeramu, amaduuka amanene, situdiyo z’ennyimba, ebifo abalambuzi webawummulira n’ebirala.
Akon asuubirwa okulambula ebifo ebyenjawulo ebyobulambuzi mu Yuganda wamu n’amasinzizo ag’enjawulo.