akuba ppaasipooti ez’ebiccupuli akwatiddwa

Ekitongole kya ‘Flying Squad’ kikoze ekikwekweto ne kikwata abadde yeeyita ow’ebyokwerinda n’afera abantu. Jamir Mabiriizi 38, ow’e Kitetikka mu ggombolola y’e Nangabo – Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso, ye yakwatiddwa oluvannyuma lw’okusangibwa ne paasipooti enjingirire.
Mabiriizi era yasangiddwa n’ennyondo, ebyambalo by’amagye ne sitampu ebigambibwa okuba nga by’abadde akozesa okujingirira ebiwandiiko.
Ensonda mu Flying Squad zaategeezezza nti, ezimu ku paasipooti ze yasangiddwa nazo ziri mu mannya ag’enjawulo era bannyinizo bateeberezebwa okuba nga baafa oba nga yabeekweka nga tebamanyi gy’ali oluvannyuma olw’okubanyagako ssente zaabwe.
Kigambibwa nti Mabiriizi yasooka n’afera munnansi wa South Sudan n’amunyagako obukadde 12, n’adduka nga baagenze okwaza w’asula ne basangayo ebyuma by’akozesa okukuba paasipooti ne visa, wamu n’obufaananyi bw’abantu be bateebereza nti yabafera oba n’okuba nti yabatta kubanga yasangiddwa n’ejjambiya wamu n’ennyondo nga yabikweka wansi w’ekitanda.
Mabiriizi olwakwatiddwa yasoose kwegaana paasipooti ezaasangiddwa mu nnyumba ye ng’agamba nti zaali za bapangisa be be yagoba kyokka oluvannyuma n’akkiriza nti kituufu zize era abadde yeeyiiya.
“Afande siri musajja mubi, ng’enda na kukubuulira waliwo abasajja be mmanyi ababbisa emmundu bw’onooba osobola okunsonyiwa mukama wange,” bw’atyo Mabiriizi bwe yalaajanidde akulira Flying Squad, D/SSP Kakonge.
Wabula ensonda mu Flying Squad zaategeezezza nti Mabiriizi yandiba ng’abadde ayamba okufunira abantu abakyamu abatali bannansi ebiwandiiko ebibalaga nti Bannayuganda.

Leave a Reply