Ekifi ky’ennyama ya Ssekukkulu kitabudde abafumbo omu n’akuba munne omusekuzo ku mutwe n’amutta. – Mubende
Muhawimana Donadatia ow’emyaka 32 y’akubiddwa bba Nahweza Benard myaka 34 omusekuzo ku mutwe ogumugye mu budde era nga enjega eno egudde ku kyalo Kyakadaali ekisangibwa mu ggombolola y’e Kitenga mu Disitulikiti y’e Mubende.
Nahweza Benard ategeezezza Police, nti yaguzze bulungi ennyama ye eya Ssekululu n’alondamu ekifi kye naye ekimujje mu mbeera kwe kulaba nga ate omukyala kyeyalidde era bw’amubuuzizza ensonga eyamuliisizza ekifi kye ate azze mu kumuvuma olw’obusungu kwe kukwata omusekuzo n’agumukuba.
Aduumira Police e Mubende, Magoola Charles ategeezezza nti omulambo gwa Muhawimana guleeteddwa mu ddwaliro e Mubende okwekebejjebwa wabula ye Nahweza Benard emikono gyazze dda gyegitaliira ntungo.