Police y’e Nagalama egombyemu obwala omusajja agambibwa okuba nga y’akulira ekibinja ky’ababbi b’emmotoka abatigomya Mukono, Kayunga n’ebitundu ebyetooloddewo.
Omusasi waffe Kato Vicent e Kayunga agamba nti akwatiddwa ye Abdul Bakunda Kato ng’asangiddwa n’omunyago gwe ogwakasembayo nga gwa mmotoka kika kya Toyota Town Ace gyeyabba e Kasawo ennaku ssatu eziyise.
Emmotoka eno gyeyabbye esangiddwa nga yagikwese Mutungo – Bbiina mu Kampala okuliraana amakage e Kitintale