Akulira ba Kifeesi agombeddwamu obwala

Omwogezi w'ekitongole kya Police mu ggwanga,  Emilian Kayima agamba nti Police mu bitundu by'e Nsangi  ekutte omusajja Paddy Sserunjogi eyakazibwako erya Sobi agambibwa okukulira ba Kifeesi .

Kayima agamba nti Sserunjogi akwatiddwa ne banne abalala babiri omuli Shafik Kasozi ne Twaha Tim nga bano babakwatidde Kyengera ku Rose Gardens. 

Bano nti be babadde batigomya abantu mu kibuga Kampala n'emiriraano. 

Leave a Reply