Nga gwe mulundi ogusoose mu myaka egikunukkiriza mu 30, Gen. Omar
al-Bashir gye yaakafugira Sudan, amagye g’abadde asinga okwesiga
gamujeemedde, bwe gategeezezza nti bo kikafuuwe okukozesa eryanyi ku
beekalakaasa.
Omuduumizi w’amagye agambye nti, “Ffenna Sudan yaffe.
Ekikulu Pulezidenti kutereeza byanfuna kubanga bitunyigira wamu.
Okukozesa eryanyi ku beekalakaasa tekijja kuyamba. Amagye tegajja
kweyingiza mu bya kukkakkanya kwekalakaasa.”
Kyokka wadde amagye
geeyamye obutakozesa lyanyi, yo poliisi ekyagenda mu maaso n’okukuba
amasasi n’omukka ogubalagala mu beekalakaasi abamaze okusasaana mu
bibuga kati 28.
Okwekalakaasa kwatandise December 19, oluvannyuma
lw’ebbeeyi y’amafuta, eŋŋaano n’emigaati okulinnya n’ekubisibwamu
emirundi ebiri. Mu Sudan basinga kulya migaati n’emmere ekolebwa mu
ŋŋaano nga chapati n’amandaazi.