Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo n’essaala nga asaba Allah okumugumya ku mukutu gwe ogwa Twitter: “Ayi Allah omuyinza wabyonna, tukusaba otuwe obuguminkiriza, eddembe, n’obuntubulamu naddala mu kaseera nga emitima gyaffe gimenyese nnyo. Tulemererwa okutuukiriza oluusi byetwetaaga mu bulamu netusoomozebwa ebitagambika wamu n’okwenyika emitima. Tuwe obuvumu n’okusalawo okutuukiridde tusobole okutambulira mu kubo egolokofu ly’otutemedde. Sitaani mukuumire ku njegere.”