Alleluyah… Alleluyah….Azuukidde nga bweyagamba…y’engombo ebunye wonna mu nsi yonna eri abagoberezi ba Yesu Kristu olwaleero ku lunaku lw’amazuukira g’omulokozi.
Nabwekityo Abakulisitaayo wonna bakedde kweyiwa mu masinzizo okutendereza, okusinza wamu n’okujjukira amazuukira ga Yesu Kristu.
Wabula namuttikwa w’enkuba akedde okufudemba ataataaganyizza abantu mu bitundu eby’enjawulo naddala mu bitundu by’ e Ntebe omuli Namulanda, Kawuku n’awalala era nga abasinga tebasobodde kukeera kugenda mu masinzizo.