Agave mu kibuga Conakry e Guinea galaga nti amaggye g’eggwanga nga gaduumirwa Mamady Doumbouya, gasazeeko amaka g’omukulembeze w’eggwanga Alpha Conde 83, negamuwamba.
Amaggye gayiiriddwa ku lutindo olugatta ebitundu ebirala ku Kaloum n’olubiri lwa Pulezidenti lukuumibwa butiribiri. Konde abadde ayagala kwesimbawo kisanja kyakusatu.