Amagombolola ag’enjawulo okuva e Busiro ne Kyaddondo, gakiise embuga negaleeta oluwalo olusobye mu bukadde 36.
Mu gakiise kuliko;
Busiro
Ssaabawaali Kasanje, Ssaabaddu Katabi, ne mu Musaale Sisa.
Kyaddondo
Mukulu wa Kibuga-Lubaga
Mutuba V Kawempe
Mutuba IV Entebbe Lunnyo
Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi mu bwakabaka,Owek Robert Waggwa Nsibirwa yakiikiridde Katikkiro okutikkula oluwalo luno.
Mu bubaka bwe, Owek Nsibirwa yeebazizza abantu ba Kabaka okukiika embuga naategeeza nti okwekolamu omulimu nebasonda ensimbi nebawagira emirimu gya Beene, kintu kinene nnyo kubanga kiraga okwagala, n’obumalirivu eri obwakabaka bwabwe ne bafuba okulaba nga Buganda egenda mu maaso. Wano Owek Nsibirwa wasinzidde neyeebaza abaami baamagombolola olw’okutambulanga mu bantu yonna gyebali nebabakubiriza okuwaayo okuzimba Buganda.
Mu ngeri yeemu Owek Robert Waggwa Nsibirwa, asabye abakulembeze balambike abantu ku nkyuukakyuuka eziba zizze mu bitundu byabwe basobole okutambulira mu buwuufu bw’enkyuukakyuuka ezo bweziba nga zigendereddwamu okuleetawo nkulaakulana eziyamba ekitundu.
Ye Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu era Minisita w’ensonga za Buganda ebweru, Owek Joseph Kawuki, asabye abakulembeze ku buli mutendera okunyweza ebyo ebituukiddwako mu myaka egiyise ate era beekubemu tooki mu bitannakolebwa olwo kibasobozese okubivuunuka obulungi.
Okusinziira ku Oweek Kawuki, amagombolola agakiise leero bwogeraageranya n’oluwalo lwebaaleeta omwaka oguwedde, bakubisizaamu emirundi ebiri era kino kibongedde essuubi ery’okutuukiriza omutemwa gwebeeyama okutuukako ogw’obukadde 800 omwaka guno.
Ye Mukyala Nakibirige Agnes Ssempa, mu kiseera kino akolanga Kaggo, yeebazizza ab’emiruka, abatongole wamu n’ebitongole eby’enjawulo olw’okusitukiramu nebakiika embuga kubanga kibakakatako okukiika embuga nebaaleeta oluwalo.
Amagombolola gano agakiise olwaleero, omwaka oguwedde galeeta obukadde obwasoba mu 27, ate ku luno baleese obukadde 36 ekintu ekiraga okugenda mu maaso.