Amagye ga Yuganda gagamba nti gatandise okunoonyereza ku mujaasi eyakubye banne amasasi mu nkambi y’amagye ey’e Kasijjagirwa nga yabakuba lwakusatu lwa ssabbiiti eno .
Private Joseph Arioni yakuba abajaasi babiri amasasi nebafiirawo era n’akuliita n’emmundu zaabwe nga bano baali bakuuma tterekero lya byuma ebikozesebwa mu mmundu .
Ye Captain Benon Mutatina aduumira enkambi eno agamba nti amagye ganoonyereza nga kiyinzika okuba nga Omujaasi ono abaddeko n’abajaasi abalala baakolagana nabo basobole okubba eby’okulwanyisa ebiwera .
Wabula omubaka wa Pulezidenti e Masaka Joe Walusimbi ate nga ye ssentebe w’akakiiko k’ebyokwerinda mu Disitulikiti ye Masakaagamba nti bakubye olukungaana lw’ebyokwerinda basalire ensonga eno eggoye .
Walusimbi ayongerako nti emirambo gy’abajaasi abattiddwa giweereddwa bannannyinigyo .