Amaka 1000 gagobaganyizibwa ku ttaka – Kabale

Abatuuze okuva mu magombolola ana okuva mu Disitulikiti y’e Kabaale beekubidde enduulu eri Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga nga baagala Palamenti eyingire mu nsonga yaabwe ey’okugobaganyizibwa ku ttaka lyabwe era nga amaka agagobaganyizibwa gasoba mu lukumi nga bagobaganyizibwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ebibira mu ggwanga ekya National Forestry Authority.

Abakoseddwa ba mu ggombolola y’e Nyamarundu, Kabasekende , Mugarama awamu n’eggombolola y’e Bubango. Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ebibira bagamba nti abantu bano beesenza ku bitundu by’ekibira.

Wabula abantu bano mu kwekubira enduulu nga bakulemberwamu Philip Bikoola, bannyonnyodde nebagamba nti ettaka lino baalifuna mu butuufu nga bayita mu lukiiko oluvunaanyizibwa ku by’ettaaka ku Disitulikiti era nga baaweebwa ettaka lino nga bamaze n’okulamba ensalo z’ekibira.

Bikoola agamba nti basula bakukunadde nga lumonde mu bikata olw’okutiisibwatiisibwa RDC w’ekitundu kino, Samuel Kisembo abategeezezza nti balina okwamuka ekitundu kino amangu ddala.

 

Leave a Reply