Eyaliko Ssaabaminisita wa Yuganda John Patrick Amama Mbabazi; “Olwaleero oluvannyuma lw’emyaka 6 njogerako eri Bannamawulire.
Ekigendererwa ky’olukingaana lwa Bannamawulire luno kwekubanjulira ekitongole kya Africa Global Security Organisation ekyatongozeddwa nga 13-February mu Senegal. Africa Global Security Organization ekitebe kyako kiri Dakar, Senegal era nga nze agenda okukikulira.”