Amasasi ganyoose ku byalo 6 lwa ttaka

Amasasi ganyoose ku byalo 6 ebisangibwa mu ggombolola ye Butologo e Mubende. Kino kiddiridde abatuuze okulumba omu ku bakozi  b'omugagga abalina ettaka ku kitundu kino gwe balumiriza okubeera nga yalibabbako. 

Obuzibu webuvudde ky' e kibinja kya batuuze okulumba omukozi owa Maj. Erick Kigambohwa eyagula ettaka mu kitundu kino eyabadde agenze ku dduuka okugula ebintu ne bamusangayo ne batandika okumukuba ekyaggye Police mu mbeera n'etandika okukuba amasasi mu bbanga. 

Omu ku batuuze agamba nti omukozi ono babadde baagala okumugajambula nga balumiriza mukama waabwe okubatulugunya ku ttaka. 

Aduumira Police e Mubende Byaruhanga Patrick ategeezezza nti Police kituufu evuddeyo n'ekuba amasasi mu bbanga okusobola okugumbulula abatuuze ababadde befunyiridde nga babagalidde embuukuuli z'emiggo nga baagala okutuusa obulabe ku mukozi ono . 

Ettaka lino erikaayanirwa liwezaako square mile 3 era nga liri ku byalo Kiture, Buyinde, Kibalagazi, Kirwanyi, Kamwanza ne Kiyungu mu muluka gw'e Kirwanyi mu ggombolola y'e Butoloogo eryawaliriza n'akakiiko k'o omulamuzi Catherine Bamugemereire ak' ettaka okugenda mu kitundu kino olw'abantu abazzenga batingana mu kitundu kino. 

 

Leave a Reply