Amasasi ganyoose e Mubende nga police erwanagana n’abatuuze ababadde beesomye okutta ateeberezebwa okuba omubbi.
Kino kiddiridde omuvubuka atannategeerekeka mannya agambibwa okutta omutuuze-Paul Nzanywa n’amuvumbika mu kyokero ky’a manda okukwatibwa abatuuze bo mu Kibaati mu Municipaali y’e Mubende
Ono abatuuze okumukwata kiddiridde okumusanga n’akuuma akasala embaawo akaali ak’omugenzi Paul Nzanywa era olumubuuziza gyeyakajja kwekukkiriza nga bweyamuttira e Kidimya mu gombolola ye Kasule e Kyegegwa namuvumbika mu manda.
Omu ku baganda b’ omugenzi nga ye Kwizimaana John ategeezezza nti omuvubuka ono okutemula muganda waabwe yali amubanja ensimbi emitwalo nsanvu
(700.000) nti era ono yali mupakasi we.
Kino kiviriddeko police okuwandagaza amasasi mu bbanga okugumbulula abantu abadde baligita omuvubuka ono emikuza nnyana n’okumukuba amayinja era ng’ono okuwona emagombe anaasimbayo kitooke .