Amasomero 24 gaggaddwa ab’ebyenjigiriza e Mubende ekisattizza abazadde gebagamba nti gandizza omutindo gw’ebyenjigiriza emabega.
Kino nno kiddiridde abavunaanyizbwa ku masomero mu magombolola omuli ey’ e Kibalinga, Kitenga, Kiganda awamu ne Municipaali ey’ e Mubende, gebagamba nti temuli bisaanyizo omuli entebe, ebizimbe, Layisinsi, gattako n’ebisaawe abaana mwebazannyira.
Norah Mbabazi ng’ono mukiise ku lukiiko lwa Disitulikiti e Mubende ategeezezza nti embeera eno y’akukosa ebyenjigiriza mu kitundu olwokubanga abayizi abasinga okukola obulungi e Mubende bava mu masomero ga bwa nnannyini.