Amasomero g’obwanannyini agasoba mu 1,000 gegalwa olw’obutaba nabisaanyizo

Gavumenti egaddewo amasomero ag’obwannannyini agawerera ddala 1,132 nga kuno kuliko aga primary ne secondary agaatalina licence. Amasomero agasinga agagalwa gaali tegalina bisaanyizo bitandikirwako. Dr Kedrace Turyagyenda, nga y’akulira Directorate of Education Standards yagambye newankubadde agamu gaafuna ebisaanyizo ebimu naye nga bakyalina byebalina okutuukiriza ne District zaabwe.
Mr Ismail Mulindwa, nga ye commissioner w’amasomero g’obwanannyini yagambye nti Gavumenti tesaba ssente yonna okuwa amasomero g’obwanannyini License era navumirira nnyo abo abasaba ssente.

District n’omuwendo gw’amasomero agagalwa;
Mitooma 26, Luuka 33, Jinja 49, Kasese 132, Bridge International Schools 63, Kira Municipality 27, Butambala 61, Wakiso 6, Buikwe 4, Rukiga 19, Bududa 5, Kole 9, Masindi Municipal council 10, Njeru Municipal 38, Kisoro 137, Mityana Municipal 3, Ibanda 3, Ibanda Municipal 15, Bugiri 67, Bugiri Municipal 2, Sheema Municipal 26, Sheema 52, Western region 74, Mubende municipal 21, Mubende 33, Kumi 17, Bundibugyo 49, Pallisa 68, Pallisa Town council 19, Soroti 17, Namayingo 47.

 

Leave a Reply