Amasomero g’obwannannyini agawerera ddala 36 gaggaddwa abakulira ebyenjigiriza mu Disitulikiti y’e Luuka mu buvanjuba bwa Yuganda lwa butaba na bisaanyizo .
Ekikwekweto ekikuliddwamu akulira ebyenjigiriza mu Disitulikiti eno ng’ali wamu n’omubaka wa Pulezidenti , Nsubuga Beewaayo kigendereddwamu okulaba nga buli ssomero eriri mu kitundu kino lirina ebisaanyizo ebimala era ebituukiridde okubangula abaana b’eggwanga.
RDC Nsubuga agamba nti nga olusoma lw’omulundi guno terunnatandika, baasisinkana ba nnannyini masomero gano nebabasaba bafube okulaba nga batuukiriza ebyo ebyetaagisa naye bbo olusoma bwelwatandika nebagenda mu maaso n’okuggya ssente ku bazadde ate nga bakimanyi bulungi nti tebannatuukiriza ebyo eby’abalagirwa okukola.