amasundiro g’amafuta gaweereddwa ebiragiro ebipya

Ab’ebyokwerinda batadde obukwakkulizo ku bannannyini masundiro g’amafuta mu ggwanga naddala mu biseera bino ebya Kulisimansi abazigu mwe bayinza okwagala okukuba eggwanga awabi. Buli ssundiro ly’amafuta, baliwadde ebiragiro okufuna kkamera ezikwata ebifaananyimu buli kasonda emisana n’ekiro.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yagambye nti, kino baakikoze okulaba ng’ebyokwerinda by’eggwanga binywezebwa. Yagasseeko nti, buli kifo eky’olukale, amayumba g’abantu abalina obusobozi balina okuteekako kkamera eziyinza okuyamba singa wabeerawo obuzzi bw’emisango obuba bubaddewo mu kitundu, basobole okulaba ababababukoze.

Abeebyokwerinda baakisazeewo nti, essundiro ly’amafuta lyonna okuddamu okuweebwa layisinsi okukolera muggwanga, liteekeddwa okusooka okutuukiriza akakwakkulizo k’okubeera ne kkamera. Ensonda zigamba nti, kino bagenda kukikola nga bayita mu Minisitule y’ebyobusuubuzi ne y’ebyamasannyalaze.

“Supermarket bwe zibazaalagirwa okubeera ne kkamera munda ne wabweru, obutale nabwo nga burina lwaki amasundiro g’amafuta tegaba na kkamera”, omukungu w’ekitongole ekiketta muggwanga bwe yategeezezza. Ebifo awaterekebwa amafuta nabyo byalagiddwa okufunakkamera kubanga bibeeramu amafuta mangi nga singa waba waguddewo akasambattuko konna, amafuta gano gayinza okuviirako abantu bangi okufa.

 “Tugenda kuddamu okwekeneenya ebifo awaterekebwa amafuta mu ggwanga lyonna okukakasa nti abantu tebali kumpi nnyonabyo.” Abeebyokwerinda mu nsisinkano yaabwe bwe bakkiriziganyizza. Ensonda mubyokwerinda zaatutegeezezza nti, waliwo obubinja bw’abantu abeesomye okutabangula emirembe mu biseera bya Ssekukkulu, baagala okwokya ebizimbe, mmotoka, amasundiro g’amafuta, obutale n’ebifo awakungaanirwa abantu abangi.“Abatemu n’ababbi bwe baba tebannakola bulumbaganyi, basooka kuyimirirako mubifo eby’olukale naye nga tewali asobola kubategeera, ebifo ng’amasundiro g’amafuta we bamanyi nti tewali kkamera yonna ebalaba ne balinda be bagendaokukolako obulabe singa waba waliwo kkamera kijja kutuyamba okuzuula abatemuabatta abantu”, ensonda mu ISO bwe zaategeezezza.

Ensonda zaagasseeko nti, waliwo n’enteekateeka y’okutabangula emirembe ku lwa Boxing Day omuli okukolaeffujjo ku bantu mu bivvulu n’ebifo ebirala.

Leave a Reply