Anagezaako okubba emmundu ojja olaamye – Brig. Gen. Kulayigye

Omwogezi w’Eggye lya UPDF Brig. Gen. Felix Kulayigye avuddeyo nategeeza ngabasirikale ba UPDF bwebalumbiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero bwebabadde balawuna e Kikondo ekisangibwa mu Kapeeka Town Council ku ssaawa nga nnya n’ekitundu ez’ekiro. Ategeezezza nti abasajja babiri ababadde babagalidde emmundu emu ekika kya AK 47 bwebalumbye abasirikale ba UPDF 2 ababadde balawuna nebakubako Pte Tufeyo Abed RA/260979 amasasi agamutiddewo, wabula banne banuukudde mangu nebakuba abasajja bombi amasasi agabatiddewo era n’emmundu gyebakozesa okutta munaabwe nefunibwa.
Kulayigye ategeezezza nti kati ebitongole byebyokwerinda biggyeyo nagomubuto nga tebikyalina kisa eri oyo yenna anagezaako okunyaga emmundu nti bakumwanukuza namaanyi agatagambika nga tebajja kulonzalonza kubatta.
Leave a Reply