Akawungeezi ka leero nga ziyingira essaawa kkumineemu, omubiri gwa Assist Inspector Generral of Police era abadde omwogezi w’ekitongole kya Police, Andrew Felix Kaweesi gugalamiziddwa mu nnyumba ey’olubeerera okuliraana bakadde be ku mutala Kitwekyanjovu mu ggombolola y’e Kyazanga ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Lwengo mu Buddu wakati mu miranga n’okwazirana kwa namungi w’omuntu.
Luno lwelugendo olusembyeyo bukya Kaweesi awummula okuva ku Lwokutaano lwa ssabbiiti ewedde lweyakubwa amasi agamuttirawo okuliraana amaka ge e Kulambiro mu Disitulikiti y’e Kampala.
Nasinsi w’abantu okuva e bule n’ebweya yeeyiye ku mukolo ogwokusibula Kaweesi era nga gukulembeddwamu ekitambiro kyemisa ekikulembeddwamu Omusumba w’obusumba bw’e Masaka, Bishop John Baptist Kaggwa era nga bingi byogeddwa okutendereza obusukkulumu bw’enkola ye ey’ebintu.
Namwandu Annet Kaweesi, gwalese n’abaana abasatu asiimye Katonda olw’okumuwa omusajja gwayogeddeko nti abadde ayagala nnyo Famire ye wakati mu nkuyanja y’emirimu gyabadde nagyo.
George Mutabaazi, Ssentebe wa Disitulikiti ey’e Lwengo Kaweesi gyeyazaalibwa, agambye nti Kaweesi abadde mpagi ssedduge mu kitundu kyabwe, era n’ategeeza nga bwebagenda okubbula oluguudo olugenda e Kitwekyanjovu, luyitibwe amannya ga Kaweesi.
General Edward Katumba Wamala eyali omuduumizi w’amagye Kaweesi weyayingirira Police mu 2001, agambye nti Kaweesi yatandika nga mukozi nnyo era afudde mukozi nnyo .
Ye Ssaabapoliisi General Kale Kayihura aduumira Police ya Yuganda asambazze n’ebyogerwa nti embeera y’ebyokwerinda eremeredde ab’ebyokwerinda era wano n’ategeeza abantu nti bamaze n’okukwatayo omu ku bateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lya Kaweesi gwebasanze nga ayotta okwolekera DRC.
Andrew Felix Kaweesi aziikiddwa mu bitiibwa ebikulu omubadde n’okutulisa ebyasi mu bbanga emizinga egiweredde ddala 21 . Weeraba Kaweesi.