Omusajja asambye omwana we wa mwaka gumu n’ekitundu tteke mu lubuto naafiirawo oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya wakati we ne mukazi we.
Kigongo Sowedi wa myaka 16 nga mutuuze ku kyalo Kuku e Ssemuto mu Disitulikiti y’e Luweero yaasambye kawala ke ka Shamim Wanyama, Kigambibwa nti omukazi bw’ adduse awo Kigongo n’akyukira omwana n’amusamba tteke mu kifuba nemulubuto n’akalirawo.
Wabula ye Kigongo olumaze okukola ettemu lino n’ayotta era nga kati Police emuwenja.