Entiisa ebuutikidde abatuuze enkya ya leero ku mwalo gw'e Nabulugo e Katosi mu ggombolola y'e Ntenjeru ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Mukono oluvannyuma lw'okusanga mutuuze munnaabwe Steven Ssemwogerere ng'attiddwa.
Omulambo gwa Ssemwogerere gusangiddwa mu kitaba ky'omusaayi enkya ya leero ku mwalo okuliraana ebbajjiro lye w'abadde awenjeza ekigulira magala eddiba .
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango e Mukono, OC CID Ibrah Batasi akakasizza bino era n'ategeeza anti okunoonyereza kugenda mu maaso wabula gwo omulambo gwa Ssemwogerere gutwaliddwa mu ddwaliro ly'e Kawolo gwongere okwekebejjebwa !!