Police mu Disitulikiti y'e Mukono eri ku muyiggo gwa musajja agambibwa okukkira mukyala we n'amumiza omusu n'assaako kakokola tondeka nnyuma okuva ku kyalo Bugoba – Sseeta ekisangibwa mu Munisipaali y'e Mukono.
Omusajja ono ategeerekeseeko lya Lubwama nga yakazibwako lya Musiraamu y'akkidde mukyala we Lydia Nabukeera myaka 26 n'amuserengesa ekalannamo.
Police n'abatuuze mu kitundu kino bakyasobeddwa eka ne mu kibira kubanga batubidde n'omulambo gwa Nabukeera kubanga tebamanyi wadde wa luganda lwe yenna. Ofiisa wa Police avunaanyizibwa ku Kunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku Mukono Central Police Station, Ibrah Batasi akakasizza bino era n'ategeeza nti okuyigga Lubwama kugenda mu maaso ate omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago