Police mu Disitulikiti y’e Mityana eri mu kuwenja omusajja agambibwa okukkira mukazi we n’amuweweenyula emigoba nte ate oluvannyuma n’amunyoola ensigo era n’amutta ate n’amusibira mu nju n’ebbujje ye n’amalamu omusulo.
Omusajja ono ateeberezebwa okuggya mukyalawe Nabunya Bena ow’emyaka 33 mu bulamu bwensi eno nga amuteebereza okubaayo n’omusajja omulala gw’ayagala era nga bino bibadde ku kyalo Busuubizi ekiri mu divizoni y’e Ttamu mu Disitulikiti y’e Mityana. Kitalo !