Omubuulizi omukulu mu kusabira omugenzi Gen. Elly Tumwine Dr. Emmanuel Mujoni; “Waliwo abantu aboogera kasasiro ku mugenzi Hon. Gen Elly Tumwine – MP naye nga tonakiriza kasasiro oyo, sooka webuuze; Obudde omanyi Tumwine? Bwoba obadde omumanyi, kiki kyobadde omumanyiiko?
Mwe abasiima Gen Tumwine, mbasaba musonyiwe abo abajaganyizza olwokufa kwe, kuba babadde tebamumanyi. Singa babadde bamumanyi, tebandiwandiise bintu ngebyo ku ye.”