Ateeberezebwa okubba Bodaboda akumiddwako omuliro.

Akumiddwako omuliro ye Eriya Kasule era nga asoose kukubwa migoba nte e Luwero. 

Kasule yabadde agezaako okubba Boda Boda ku mugoba waayo mu kagga Mpigi ekisangibwa mu Ggombolola ye Kalagala mu Disitulikiti ye Luweero, yamukubye ejjinja lya minzaani ku mutwe n’agwasa wabula owa Boda Boda n’akomerera enduulu eyasombodde aba Boda banne, ne bagwa ku mubbi ekiyiifuyiifu nebamuggya mu bulamu bw’ensi eno ate n’omulambo gwe nebagukumako ennaali.

Wabula yo Police ye Vvumba egenze okutuuka ng’omubbi ayidde nga tekyalina ky’etaasa.

Leave a Reply