Police e Jinja egombyemu obwala omuyizi wa S. 3 agambibwa okusalako muyizi munne omuwala bwebasoma mu ssomero lyerimu obulago olw’okumukwana n’amugaana .
Ayub Kamongoli ow’emyaka 18 nga muyizi mu ssomero lya St. Monica Secondary School erisangibwa e Mpumudde y’agambibwa okutemako Resty Kirabo ow’emyaka 17 omutwe era nga omulambo gwa Kirabo gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi ku lwokubiri lwa ssabbiiti eno.
Aduumira Police mu Disitulikiti y’e Jinja, Jamada Wandera agamba nti Kamongoli yagombeddwamu obwala oluvannyuma lw’oluvuuvuumo okuva mu batuuze abaamuwulira ng’atiisatiisa omuwala ate olunaku olwaddirira n’asangibwa nga zembuyaga ezikaza engoye. Kitalo !