Police e Bukomansimbi eriko omusajja Kalyango Patrick ow’emyaka 42 gwegombyemu obwala lwa kukkira mukyalawe n’amutemaatema katono amuserengese e Kalannamo
Omwogezi wa Police mu kitundi kino Lameka Kigozi annyonnyodde nti omusajja ono Kalyango yakomyewo ng’atamidde bw’atyo n’agamba mukazi we nti awunya amazzi g’omusajja ag’ebitundu eby’ekyama era n’asikayo ejjambiya n’atandika okutemaatema.
Abatuuze bagenze okujja okutaasa embeera omukazi bamusanze mu kitaba kya musaayi era nebamuddusa mu ddalwilre ly’e Masaka nga aliko kikuba mukono, Wabula ye omusaja ono kalibutemu Police emutaddeko obunnyogoga agenda kuvunaanibwa gwa kugezaako kutta muntu
Bino bibadde ku kyalo Butenga B. mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi.