Ateeberezebwa okubba sapatu yeetugidde mu kaduukulu.

Minisita Nyakayirima atongozza okugaba endagamuntu mu bitundu bya soroti

Minisita w’ensonga zomunda mu gwanga General Aronda Nyakayirima, atongozza okugaba endagamuntu mu bitundu bya soroti. Muno mulimu zi Disitulikiti eziri eyo mu musanvu omuli Kaberamaido, Kumi n’emidala.

Omukazi eyagenze ku musawo w’ekinnnansi okumusawula, omusawo amukwatiddeyo.

E Iganga, omukazi eyagenze ku musawo w’ekinnnansi okumusawula, omusawo amukwatiddeyo n’akuba enduulu eyaleese ne bba eyabadde okumpi awo.

Obungi bw’abantu mu Uganda buvudde ku Butebenkevu, eddembe, ebyobulamu – Pulezidenti Museveni.

Pulezidenti Museveni agambye nti Obungi bw’abantu mu Uganda buvudde ku Butebenkevu, eddembe n’ebyobulamu ebirungi ebiri mu ggwanga. Pulezidenti bino abyogeredde ku mukolo gyokukuza olunaku lw’obungi bw’abantu mu nsi yonna, ogubadde e Ssembabule.

Suspected ADF leader Jamil Mukulu Paraded before the press

Uganda Police inspector general Gen Kale kaihura has paraded the Allied Democratic Forces (ADF) suspected leader Jamil Mukulu. Mukulu dressed in a red shirt and a brown trouser has been brought into a press room at Nalufenya police in the Eastern District Of Jinja amidst very tight security. Mukulu appears psychologically worn out though physically […]

Akulira ekiwayi ky’abayeekera ba Islamic State attiddwa.

Akulira ekiwayi ky’abayeekera ba Islamic State mu Aphaganstan Haphiz Sai,  attiddwa.

Besigye Agenda kuloopa Police mu kooti.

Eyaliko Pulezidenti wa FDC col Dr Kiiza Besigye, agamba nti agenda kuloopa Police mu kooti ku ngeri Police gy’ekolamu ebintu byayo waakiri amateeka galvanize. Bino abyogeredde ku office ku katonga road mu lukungaana lwa Bannamawulire.

Omukazi eyakuba bba asindikiddwa ku alimanda e Luzira.

Omukazi eyasanga bba nga akwata omwana atanneetuuka n’amukuba bubi nnyo, Agnes Nabirumbi, asindikiddwa ku alimanda e Luzira ate era n’omusajja naye asindikiddwa mu nkomyo, Omulamuzi Moses Nabende ku City Hall.

Ateeberezebwa okweyambira mu bantu asindikiddwa Luzira.

Kooti yoku  City Hall esindise omusajja e Luzira omusajja ateeberezebwa okweyambira mu bantu. Ono Conductor wa Takisi  Bihoyiti asindikiddwa ku alimanda e Luzira.

Tewali ataggya kuyita mu Kamyufu ka NRM – Tang Odoi

Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM, Tang Odoi agambye nti tewali agenda kuyitawo nga tavuganyiziddwa mu Kamyufu ka NRM.