Mbabazi amaze okusomoka Lugazi alumba Mbale

Mbabazi bwalinnya e Mbale waakugombebwamu obwala – Fellix Kaweesi.

Akulira ebikwekweto bya Police Andrew Fellix Kaweesi agamba nti eyaliko Ssaabaminisita Mbabazi waalinnyira e Mbale waakugombebwamu obwala. Wabula ye Mbabazi alumye n’ogwengulu okugenda e Mbale.

Police eyabadde yetegudde ekibuga Mbale, ezzeemu okugumba.

Police akawungeezi ka ggyo eyabadde eyamuse ekibuga Mbale bukedde eteevunya nga buwuka. Kino kigendererwamu kulemesa Mbabazi kukuba lukungaana kwebuuza ku bawagizi be.

Katikkiro akungaanyizza ettofaali lya bukadde 200 okuva e Buddu,

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayega agamba nti Buganda eteekwa okwongera okukulaakulana, Abadde mu Ssaza lya Buddu gy’akunngaanyizza obukadde.

Abaserikale ababadde bagumbye e Mbale okulinda Mbabazi baggiddwawo

Akawungeezi ka leero abaserikale ababadde bagumbye e Mbale okulinda Mbabazi nga agenda okukuba olukunngaana, babatisse ku bimotoka byabwe okusomezebwawo e Kampala.

Eby’okwerinda binywezeddwa e Mbale okulemesa Mbabazi.

Eby’okwerinda binywezeddwa e Mbale okulemesa Mbabazi Mbabazi okukuba enkungaana okwebuuza ku bawagizi be ku ky’okwesimbawo mu 2016.

Palamenti ya Chile esooka eyisizza etteeka erikkiriza enjaga

Palamenti ya Chile esooka eyisizza etteeka erikkiriza enjaga. Nti waakiri buli Maka gabeere n’ebikolo 6,esobole okukozesebwa nga eddagala, okwesanyusa n’ebirala. Era etteeka lino lyawagiddwa ababaka bingi ddala. Kati lirinze kugenda mu Senate.

Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka ku bukenuzi

Palamenti akawungeezi ka ggyo yayisizza ebbago ku tteeka ly’obukenuzi, era nga omuntu yenna asingisibwa omusango aggyibwako ebintu bye eby’obugagga.

Pulezidenti Uhuru Kenyata atadde omukono ku tteeka erikkiriza abasajja okuwasa abakazi bebaagala

Pulezidenti wa Kenya Uhuru Kenyata olwaleero atadde omukono ku tteeka erikkiriza abasajja okwewasizza abakazi be baagala bonna,,,,!

Katikkiro Mayega akungaanyizza ettofaali eddene mu Buddu

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayega akungaanyizza ettofaali eddene ddala nga liri eyo mu bukadde 50 mu ssaza lya Buddu. Eryo nno lya lunaku lumu kuba n’enkya waakwongera okutalaaga Buddu.