Abali ebweru w’eggwanga tebagenda kulonda -Akakiiko k’ebyokulonda 2016.
Akakiiko k’ebyokulonda kagamba nti tekagenda kusobola kuteekawo nteekateeka esobozesa bali bweru wa ggwanga kulonda N’olwekyo tebagenda kulonda mu kalulu akabindabinda aka 2016.
Besigye yewandiisizza mu kibiina okuvuganya ku Ntebe y’eggwanga 2016.
Eyaliko Pulezidenti wa FDC col Dr. Kiiza Besigye akawungeezi ka ggyo yewandiisizza mu kibiina okuvuganya ku Ntebe y’eggwanga 2016.
Obubenje buva ku kuvuga ndiima – aba UNRA.
Eng. James Okiror wa kitongole kya UNRA, agamba nti obubenje obugwa ku luguudo lw’e Masaka buva ku kuvuga ndiima, nti era abadereeva olulaba akaguudo akateredde nga bongeza. Eng. bino yabyogedde ng’asinziira ku kabenje akagudde wo ku luguudo olwo eggulo.
Eyali Katikkiro JB Walusimbi akukkulumidde abaasuula enkola y’omumuli.
Eyali Katikkiro wa Buganda Eng. JB Walusimbi akukkulumidde abaasuula enkola y’omumuli ye kennyini gyeyatandika nga akyali katikkiro. JB agamba nti enkola eno yali yaakuyamba enfuna y’amaka, yabadde ku e Kelezia e Nakulabye.
Sheikh Hassan Kirya Laid to rest at Nkoowe.
The body of Sheikh Hassan Kirya has been laid to rest today at Nkoowe Wakiso district. Sheikh Hassan Kirya has been the spokes person for kibuli and he was shot to death last night at Bweyogerere.
Ettemu lyeyongedde, Omusajja ne Mukazi we basangiddwa nga battiddwa.
Kitalo ettemu mu Uganda lyongedde okwegiriisa, Omusajja ne Mukazi we basangiddwa nga battiddwa mu nju nga emirambo gyabwe gimaze ennaku eziwera. Bino bibadde mu Namagabi A mu Kayunga. I
Bikumi na bikubi bakunngaanye wali e Kibuli okukungubagira Sheikh Hassan Kirya
Ebikumi n’ebikumi by’abantu bakunngaanye e Kibuli okukungubagira Sheikh Hassan Kirya eyakubiddwa amasasi ku nkingiizi za Kampala e Bweyogerere Sheikh Hassan Kirya yaabadde omwogezi wa Kibuli.
Akabenje ddekabusa omufiiridde abantu abasoba mu 15. Kitalo
Kitalo nnyo, Akabenje ddekabusa omufiiridde abantu abasoba mu 15 ku luguudo lw’e Masaka okuliraana Katende. Akabenje kano keetabiddwamu emmotoka ezisoba mu 6 wabula abantu abalala baddusiddwa mu ddwaliro.
Sheikh Hassan Kirya akubiddwa amasasi agamuttiddewo!
Kitalo nnyo omwogezi w’ekiwayi ky’e Kibuli Sheikh Hassan Kirya akubiddwa amasasi agamuttiddewo ekiro ekikeesezza olwaleero wali mu ttaawo lya Northern bypass e Bweyogerere. Kitalo nnyo.! !!