Omusajja atemyeko munne omutwe naye nebamutemako ogugwe
Entiisa ebuutikidde abantu b’e Kajjansi ku luguudo lw’e Ntebe, omusajja bw’atemyeko mulirwana we omutwe ate naye abatuuze nebamutemako ogugwe, kati emitwe gyombi giri awo.
Police ezinzeeko ekizimbe ekiteeberezebwa okuyingirwamu ababbi e Kabalagala
Police enkya ya leero ezinzeeko ekizimbe ekiteeberezebwa okuyingirwamu ababbi. Ekizimbe kino kiyitibwa kings Gate okuli ettabi lya Crane Bank.
Nabbambula w’omuliro akutte ekizimbe mu nkambi y’amagye ey’e Nsambya
Enkya ya leero Nabbambula w’omuliro akutte ekizimbe mu nkambi y’amagye ey’e Nsambya n’aasaanyaawo ebintu bingi wabula mubabaddemu omwana ayidde naye ekirungi tafudde era addusiddwa mu ddwaliro. Nti ekizimbe ekirimu ekiwanvu ky’ekiyidde.
Akalulu ka LC kakusimba mu mugongo
Minisita wa Gavumenti ezebitundu, Adolf Mwesigye agamba nti Gavumenti terina sente zimala ku kalulu ka LC era kagenda kuba kaakusimba mu mugongo!
Ky’ekiseera okukyusa
Amama Mbabazi agamba nti kino ky’ekiseera Museveni okuwaayo entebe mu mirembe n’abalala bakwate enkasi.
Bannansi basaanye okutunuza eriiso ejjogi
Bannansi bakubiriziddwa okutunuza eriiso ejjogi ku buli bw’enguzi kubanga Uganda ekwata ekifo kyakumwanjo mu kugirya. Kino kisabiddwa ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya TRANSPARENCY INTERNATIONAL
Gavumenti esabiddwa okuzimba laboratory
Ssaabawaabi wa Gavumenti Michael Kibita asabye Gavumenti ezimbe laboratory ezimala okwanguyizaako okunoonyereza.
Omusiraamu attiddwa ng’ava ku so allah
Entiisa ebuutikidde abantu b’e Kyazanga mu Lwengo bwebasaanze omulambo ku makya nga omusiraamu yattidwa ng’ava kusaala Subuhi!!!
Oluyimba lw’ekiggunda olwolunaku, Gyogenda
Oluyinba lw’ekiggunda leero mu pulogulaamu zonna, Gyogenda aka Phina Mugerwa okikola otya, :genda mu simu yo type – tune space teekawo 51575 sindika ku 170 osobola okuwangula ticket y’ekiggunda.