Ebitone bikendeeza ebbula ly’emirimu
Amyuka Minista w’ebyenjigiriza ate era avunaanyizibwa ku by’ensoma ebya Primary Ho. JC Muyingo agamba nti ebbula ly’emirimu lisobola okukendeezebwa nga bakutte ku bitone. Bino yabyegedde nga aggalawo empaka z’emipiira wali e Zirobwe mu Luweero.
Chartered bank eyambye ba muzibe
Bank ya Standard Chartererd eyambye abaana abatalaba ng’eyita mukubawa ebintu eby’enjawulo okuyimirizaawo obulamu, Bino byakoleddwa ku mukolo ogwabadde e Jinja era abakulira ekibiina kya Uganda National Association for the Blind bagamba nti abaana bano baamugaso era balina byebasobola okukola ebiyamba eggwanga.
Omukago gw’abebibiina tegusobola kukola
Omubaka omukyala owa Kampala Nabila Nagayi Ssempala, agamba nti omukago gw’abebibiina tegusobola kubaako kyegukola, Nti abantu ab’olubatu basalirawo batya abangi mu kukola omuakago, Era Nagayi ayongerako nti takkiriziganya na ngeri kalulu ka FDC gyekakubwamu, nti kaalimu okugulirira abalonzi , okusuubiza abantu amasimu, okutambuza abalonzi gattako n’okumetta enziro.
Dp eweereddwa amagezi
Ekibiina kya Dp kiweereddwa amagezi okwetereeza naddala mu kaseera kano nga NRM yeyuzaayuza Amagezi gano gaaweereddwa Keneth Paul Kakande omwogezi w’ekibiina kino bwebaabadde ku mikolo gy’okulayiza abakulembeze e Ggaba.
Museveni asiimye ab’amakolero
Pulezideni Museveni asiimye bannamakolero naddala ag’ebyuma era na’abasuubiza okubayambako. Wabula abakubirizza okukola ebibiina eby’awamu basobole okuyitimuka . Munno mubaddemu Roofings, Steel Mills n’endala nnyingi!
EC eyanukudde Mbabazi
Akakiiko k’ebyokulonda kaanukudde ebbaluwa ya Mbabazi, Wano kalabudde Mbabazi okugoberera obulungi amateeka, obutakuba nkungaana za bantu bangi,ezitatwala budde buwanvu nnyo kubanga akaseera ka kampeyini tekannatuuka.
Ssejusa siwakukomya mirimu gya byabufuzi.
General David Ssejusa agambye nti siwaakuva mu mirimu gye egy’ebyobufuzi era eky’okumukwata kabonero akalaga nti NRM etandise okutiitira Bino abyogedde oluvannyuma lw’okukwatibwa ate n’ateebwa wali ku Police ya Jinja road nga talina musango gw’avunaaniddwa
Abasiraamu basabiddwa okugaba
Abasiraamu basabiddwa okutoola ku ako akatono ke balina bawe abantu abatalina mwasirizi, abaana, abakadde n’abalala abagwa mu kkowe eryo naddala mu kiseera kino nga bali mu kisiibo Kino nno kyongera ku mpeera y’omusiibi.
Abawagizi ba Mbabazi bakwatiddwa
Abawagizi ba eyaliko Ssaabawandiisi wa NRM Amama Mbabazi e Mubende bakwatiddwa era nebaggalirwa oluvannyuma lw’okubasanga n’obufulaano nga buliko ebifaananyi bya Mbabazi.