Kitalo! Abaana 2 bafiiridde mu nkuba e Masaka
Kitalo! Abaana babiri bafiiridde mu nkuba etonnye ngenaggwa mu ggulu oluvannyuma lwokutwalibwa mukoka booda booda kwebabadde batambulira ne nyabwe bweremeredde omugabo nebagwa mu mazzi negabatwala. Ye Nnyabwe nowa booda booda basimatuse. Enjega eno yagudde Masaka olunaku lweggulo. Bya Maggie Kayondo #ffemmwemmweffe
Kitalo! Omukyala asangiddwa ku Northern Bypass nga atiddwa
Kitalo! Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police SSP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force bwetandise okunoonyereza kuligambibwa okubeera ettemu eryakoleddwa ku Mukyala asangiddwa okuliraana ku ttaawo lya Agenda mu Kamuli A’ Zone, Kireka ward, Namugongo Division, mu Disitulikiti y’e Wakiso enkya yaleero. Omukyala atemera mu myaka nga 30 asangiddwa ngasuuliddwa ku kubo nga talina […]
Hon. Jolly Mugisha aziikibwa lwaleero
Bannabyabufuzi okuva mu bibiina ebyenjawulo okuli Allaince for National Transformation nga bakulembeddwamu Gen. Mugisha Muntu, Winnie Kiizza nabalala begasse ku Bannakibiina kya National Unity Platform abakulembeddwamu Pulezidenti w’Ekibiina Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, Dr. Lina Zedriga Waru, David Lewis Rubongoya kwossa n’Ababaka okuli Hon. Shamim Malende bebamu ku beetabye mukusabira omwoyo gw’omugenzi Hon. Jolly […]
Mukendeeze ku bayizi bemuwa amasomo g’obusawo – Minisita Kataaha
Mukyala w’Omukulembeze w’Eggwanga era Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni avuddeyo nalagira amatendekero naddala agalina amasomo gebyobusawo okusala ku muwendo gw’abayizi gwebayingiza ku masomo gano okusobola okukendeeza ku mujjuzo oguli mu malwaliro gyebagenda okutendekebwa. Minisita yategeezezza nti Gavumenti terina busobozi bwongera kugaziya ku malwaliro agaliwo kati oba okuzimba amalala abasawo bano abatendekebwa mwebanakolera. […]
Tujja kuba bajjega singa tetubaako nnongoosereza zituyise mu mateeka gabyakulonda – Mpuuga
Omubaka Mathais Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti kigenda kubeera kya bulabe nnyo era ekyoleko obujega obwekika ekyewaggulu singa Bannankyuukakyuuka banakola obulagajjavu nebagenda mu kalulu ka 2026 nga tewali nnongoosereza zebalwaniridde okulaba nti ziteekebwa mu Mateeka agaluŋŋamya ebyokulonda mu Ggwanga. Ono asabye Bannabyabufuzi ne Bannankyukyuka bonna okuvaayo bamuwagire mu kaweefube gwaliko okulaba nga waliwo ennongoosereza ezikolebwa […]
Omuwendo gw’Ababaka njagala kukendeezebwe – Mpuuga
Omubaka akiikirira Nyendo Mukungwe, Munnakibiina kya National Unity Platform Mathias Mpuuga Nsamba, asabye Palalmenti olukusa okugenda mu luwummula okutuusa wiiki ejja okuleeta ennongoosereza mu Ssemateeka, nga zino zekuusa ku byokulonda omuli; okutondawo olukiiko olwa waggulu olukubirizibwa omumyuka wa Pulezidenti n’okukendeeza ku muwendo gw’Ababaka ba Palamenti. #ffemmwemmweffe
SinoHydro mwebale kukola mulimu mulungi – H.E Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Okutongoza ebbibiro ly’amasanyalaze erikola 600MW erya Karuma Hydropower Project erisangibwa mu Disitulikiti y’e Kiryandongo mawulire malungi nnyo era twolekera ekkubo ettuufu. Nebaza Bannamukago okuva e China abatuwa ensimbi ebintundu 85 ku 100 ffe netwongerako ebitundu 15 ku 100 okuva mu kittavvu kyobubagagga obwensimbo okusobola okuzimba ebbibiro lino amakula. Nsiima nnyo China […]
Sisobola kwetonda olwokunonda okukwatira DP Bloc bendera ku bwa Pulezidenti – Mpuuga
Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform akiikirira Nnyendo – Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba; “Nneebaza baganda bange mu DP Bloc abannonze okubakwatira bbendera mu kalulu kabonna ku kifo ky’obwa Pulezidenti. Obuvunaanyizibwa bweboogerako mbusobola era kw’ekyo sisobola kwetonda naye sirowooza nti eno y’ensonga enkulu mu kadde kano.” #ffemmwemmweffe
Pulezidenti Museveni agobye abakulu mu KCCA
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agobye abakungu mu Kitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala oluvannyuma lwa alipoota ya IGG ku kikangabwa ekyagwa e Kiteezi. Pulezidenti Museveni ngakozesa obuyinza obumuweebwa ssemateeka mu Kawayiiro 172(1) (a) aka ssemateeka wa 1995 agobye abakulu mu kitongole kya@Kampala Capital City Authority – KCCA kulwobulungi bwabantu nga agamba nti okunoonyereza ku nsonga z’e […]