Minisita Nabakooba ayingidde mu nkayana z’ettaka e Luweero

Pulezidenti Museveni awabudde abawabuzi be kubyokubongeza omusaala

Abawabuzi ba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga ezenjawulo okuli; Buchaman, Catherine Kusaasira, Jennifer Fulfigure nabalala okusinziira ku Buchaman bawabudde Pulezidenti abongeze ku musaala wabula ye nabawabula nti ensimbi zino yaziyisa mu Ghetto SACCOS mwebalina okuyita okwekulaakulanya. Omuwabulwa awabudde abawabuzi, byampuna! #wolokoso #embooziyomukafunda #ffemmwemmweffe

Abaami mukwasizeeko bakyala bammwe – Hon. Malende

Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y’e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Shamim Malende olunaku olwaleero yetabye mu kusaala Jumah ku Masjid Ali Sekandi e Kawempe. Afunye akadde okwogerako eri abakiriza abetabye mu Jumah ku nsonga ezinyigiriza abakyala mu maka noluvannyuma naganira abakyala abasulirira okuzaala mama kits. Ye Imaam Hussein Kato akubirizza abantu okusonyiwa wamu nokuwa […]

Teri muntu wabulijjo gwetugenda kukiriza kufuuka Pulezidenti – Gen. Muhoozi

Mutabani w’omukulembeze w’Eggwanga era omuduumizi w’Eggye lya @UDPF Gen. @Muhoozi Kainerugaba avuddeyo ku mukutu ggwe ogwa X nategeeza nti kikafuuwe omuntu wabulijjo okutwala entebe y’omukulembeze w’Eggwanga kuba ebitongole byebyokwerinda tebisobola kukikiriza. Ono agamba nti Omukulembeze addako alina kuva mu maggye oba Poliisi. #ffemmwemmweffe

Abawagizi bange mwenna muwagire Taata mu 2026 – Gen. Muhoozi

Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo nategeeza ku mukutu ggwe ogwa X nga bwatagenda kwetaba mu kalulu kobwa Pulezidenti nti era azze mabega wa kitaawe Gen. Yoweri Kaguta Museveni. Ono asabye abawagize be mu PLU bonna okuwagira Kitaawe mu kalulu ka 2026. Kino kirekawa, Daudi Kabanda, Frank M. Gashumba, Balaam Ateenyi nabalala? #ffemmwemmweffe

Lwaki Sipiika atufuula abasiru? – Omubaka Alioni

Omubaka wa Aringa South Yorke Alioni avuddeyo natabukira Sipiika Anita Among gwagamba nti atuulidde ekiteeso kyabwe ekyokuggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti abegemulira akasiimo k’ensimbi ezisoba mu kawumbi 1. Ono agamba nti Ababaka 186 abateeka emikono ku kiteeso kino balina abantu bebakiikirira ababalonda nga basoba mu mitwalo 2 n’ekitundu nga bano bwobagatta baweza obukadde 4 […]

Olutindo lwa Karuma lwakuggalwa okuva nga 23 – September – Minisita Katumba

Minista avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entambula Ge. Edward Katumba Wamala avuddeyo nalangirira ng’olutindo lwa Karuma bwerugenda okuggalwa okuva ku bbalaza nga 23-September-2024 nga tewali motoka yonna ejja kukirizibwa kuddamu kulukozesa. Minisita ategeezezza nti kkampuni eyaweereddwa kkontulakiti yakutandikirawo okumenya enkokoto okusobola okuddaabiriza olutindo luno era nga omulimu guno gusuubirwa okutwala emyezi 3. Abagoba bonna bakubiriziddwa okutandika okukozesa […]

Kitalo! Omukulu w’Ekika kye Kiwere afudde

Kitalo! Omukulu w’Ekika ky’Ekiwere, Omutaka Luwonko Mbale Zamuwanga James abuze. Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja twakuumye bubi. #ffemmwemmweffe

Bbaasi za Jaguar ziyimiriziddwa okusaabaza abantu

Minisitule y’ebyentambula eyimirizza Bus za Kampuni ya Jaguar obutaddamu kusaabaza abantu okumala ebbanga lya naku kumi kisobozese Gavumenti okwongera okwekennenya omutindo gwabavuzi wamu ne bbaasi za kkampuni eno. Kino kiddiridde obubenje obweyongedde ku nguudo nga n’akakasembayo ke kabenje akagudde e Kabaale-Bugonzi ku luguudo oluva e kampala okudda e Masaka ku ntandikwa ya sabiiti eno bbaasi […]

Taata, Maama nabaana baabwe 2 abafiira mu kabenje e South Africa baziikiddwa

Famire y’abantu 4 abafiira mu kabenje mu Ggwanga lya South Africa okuli; Taata, Maama n’abaana baabwe 2 baziikiddwa omulundi gumu ku Kyalo Namyoya mu Disitulikiti y’e Mukono. Moses Ssemwogerere nga ye Taata, Maama ye Rebecca Arinaitwe, abaana baabwe Winfred Ssemwogerere 12, ne Samuel Ssemwogerere 2, akabenje bakafunira Eastern Cape Province e South Africa. Bya Latifah […]