Bobi Wine akyagaanye okutuwa sitaatimenti ye ku byaliwo – ACP Rusoke
Omwogezi wa Uganda Police Force ACP Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nti bakyasanze akaseera akazibu mukunoonyereza kwabwe ku byaliwo e Bulindo Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine mweyafunira obuvune kuba agaanye okubawa obujulizi ku kyaliwo. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe
Kitalo! Omusajja atamyeeko mukyala we omutwe e Katwe
Kitalo! Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango ategeezezza nga bwewaliwo ettemu eribadde e Katwe mu Kampala, omusajja ategeerekeseeko erya Kude ngali wakati w’emyaka 20-25 bwetamyeeko mukyala we Sharon Rukundo 19, omutwe. Bano nga batuuze b’omu Jjuuko Zone e Katwe mu Makindye Division nga babadde babadde mu bufumbo emyaka 2 nga balina n’omwana omu babadde […]
Bobi Wine yekoonye ku motoka bweyalinnye ebbali – Mwogezi wa Poliisi
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma agamba nti ebibaddewo olwaleero Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine asazeewo okuva mu motoka nabantu be atambuke Poliisi kyetakiriziganyizza nakyo, nti era okusinziira ku basirikale ababaddewo bwabadde adda mu motoka ye nasirinzittuka nalinnya ebbali emotoka nemutuusaako obuvune. Ono ategeezezza nti Poliisi egenda kukola […]
Ogwa Achileo Kivumbi gwakutandika okuwulirwa nga 8-10
Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina National Unity Platform Shamim Malende era nga yomu ku Bannamateeka ba NUP ategeezezza nti olwaleero mu Kkooti y’amaggye e Makindye akulira ebyokwerinda mu NIP Achileo Kivumbi aleeteddwa navunaanibwa okusangibwa n’ebintu by’amaggye. Oludda oluwaabi lutegeezezza nti lumalirizza okukola okunoonyereza ngomusango gwakutandika okuwulirwa nga 8/10/2024. Kwo okuwulira okusaba kwokweyimirirwa kwa nga 17/9/2024. […]
Temugenda kuntiisatiisa njakukiggusa – Omubaka Lumu
Omubaka akiikirira Mityana South Munnakibiina kya Democratic Party Uganda agamba nti tagenda kutiisibwatiisibwa nekyokumusimbako omuntu nti ekifo nebakitwala yalima dda emmwaanyi ze ate Munnamateeka alina ekyokukola. Ono agamba nti tajja kuweera okutuusa nga agusizza ensonga ye. #ffemmwemmweffe
Kigambibwa nti Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine alumiziddwa mukavuvungano abawagizi be kebabaddemu ne Uganda Police Force e Bulindo. Kigambibwa nti yandiba nga akubiddwa essasi oba akaccupa ka tear ggaasi ku kugulu. Ebisingawo birindirire mu mawulire gaffe. Atwaliddwa mu Ddwaliro e Nsambya okulaba nti afuna obujanjabi. #ffemmwemmweffe
Mbirozankya tokyali mukulu wa Kika ky’Effumbe, walya nsowole – Kkooti ya Kisekwa
Kkooti ya Kisekwa eramudde ku bukulu Bw’Ekika ky’Effumbe, kya kufuna Omutaka omuggya oluvannyuma lw’okukizuula nti Yusuf Mbironzankya abadde nsowole. Kino kivudde ku nsala y’omusango ogwawabwa Katikkiro we Ssiga lya Magunda, James Walusimbi Kisasa, n’abalala mu kkooti ya Kiskewa, okukizuula nti Omutaka Yusuf Mbironzankya tali mu buufu bwa Kisitu Ntege omuva oyo alya obwa Walusimbi. Kkooti […]
MTN etonedde Night Ampurire emotoka ekika kya Nissan
Kkampuni y’ebyempuliziganya eya MTN Uganda olunaku olwaleero eduukiridde omukyala Night Ampurire eyalabikira mu mawulire ga NTV Uganda ngavuga emotoka ekika kya Pickup okutambuza ebibala byatunda ku luguudo lw’e Ntebe okusobola okulabirira abaana be 5, Night yasaba omuzira kisa yenna asobola okumuwa emotoka kuba gyabadde akozesa nkadde nnyo era olwaleero MTN emuwadde emotoka ekika kya Nissan […]
Bannakibiina kya NUP 3 bakwatiddwa e Gulu
Ekibiina kya National Unity Platform kivuddeyo nekitegeeza nga Uganda Police Force olunaku lw’eggulo bweyasazeeko offiisi z’ekibiina kino mu Kibuga Gulu nekwata abantu 3 okuli; Mungu Brian, Sebastian Ogoni ne Ocira Boniface. Mungu ne Ogoni basimbiddwa mu Kkooti nebavunaanibwa emisango Poliisi gyegamba nti bagizza emyezi egiyise. NUP egamba nti oluvannyuma RDC wa Gulu yavuddeyo nategeeza nti […]