Tetunagoba ku basibe abayimbuddwa – NUP
Ekibiina kya National Unity Platform kivuddeyo nekisambajja ebibadde biatambuzibwa Jennifer Nakanguubi aka Fulfigure nti abasibe Bannakibiina kya NUP abayimbuddwa olunaku lw’eggulo babagobye ku ofiisi z’ekibiina. NUP egamba nti bayaniriziddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya era nebabasasulira nentambula eyabaleese era buli omu yaweereddwa ssente z’entambula ezibatuusa ewaabwe. Rubongoya agamba nti olwokuba batuuse kiro babasuuubizza okubasisinkana balabe […]
Ekisenge kya Besigye nsanze bakifuuzizza – Erias Lukwago
Munnamateeka wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti ebintu bya Besigye byeyalese mu wooteri mu Ggwanga lya Kenya yabifunye nti wabula yagenze okutuuka mu kisenge ono mweyali asula nga bambega okuva mu Directorate of Criminal Investigations – DCI eya Kenya bagifuuzizza dda bwatyo nategeeza nti talina bukakafu bwonna nti oba bano […]
Abantu 4 abakyuusiddwa ensingo basiibuddwa e Mulago
Eddwaliro ly’e Mulago lisiibudde abantu abalala 4 nga bano bakyuusiddwa ensigo nga bano babadde ku mutendera ogusembayo ogwobulwadde bwensigo. Kati abantu baweze 5 abakakyuusibwa ensigo mu Ddwaliro e Mulago. Executive Director Dr. Rosemary Byanyima yalangiridde kino. #ffemmwemmweffe
DHO owa Disitulikiti y’e Arua attiddwa mu bukambwe
Kitalo! Akulira ebyobulamu mu Disitulikiti y’e Arua, Paul Drileba, yatiddwa abantu ababadde bataamye obu mu Gombolola y’e Ajia byeyabadde akuba ettaka lyeyaguze okumanya ensalosalo entuufu. RDC wa Arua Toko Swaib yategeezezza nti omulambo babadde tebanaguggyayo mu nsiko gyebamutidde. #ffemmwemmweffe
Ekya Besigye okukwatibwa nakyogerako mu 2023 – Prophet Mbonye
Omusumba w’Abalokole Prophet Elvis Mbonye avuddeyo najjukiza Bannayuganda nti nga ku lwokubiri nga 31 Octotber 2023 yavaayo nalagula nga bwewaliwo Munnabyabufuzi owamaanyi eyali agenda okubulawo, abantu batandike okwogera nti bamuwambye. Ono yayongerako nti kyemutamanyi kiri nti; ono agenda kulabika wabenga awatali kyabaddewo kuba talina buzibu. Yoyongerako nti kino kigenda kubeerawo era abantu bagenda kwewuunya; nti […]
D/RDC Majambere asindikiddwa ku alimanba lwakubba ttaka
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kali wamu n’ebambega ba Uganda Police Force ne DPP batutte omumyuuka wa RDC owa Disitulikiti y’e Rukiga Kamuntu Ssemakula Ivan a.k.a Majambere, mu Kkooti y’Omulamuzi ow’e Gomba navunaanibwa omusango gwokubba ettaka. Majambere, ngali wamu n’abantu abalala […]
Amaggye muleete mwami wange – Winnie Byanyima
Executive Director wa UNAIDS, Winnie Byanyima avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nga omwami we, Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwalina ekifo kyamaggye mwakuumirwa mu Kibuga Kampala oluvannyuma lwokubuzibwawo mu Kibuga Nairobi e kya Kenya gyeyali agenze okwetaba ku mukolo gwokutongoza akatabo akawandiikibwa eyaliko Minisita webyamateeka, Martha Karua. #ffemmwemmweffe
Ffe tulina Besigye era tumutwala mu Kkooti – Brig. Kulayigye
Omwogezi w’Eggye lya UPDF Brig. Gen. Felix Kulayigye avuddeyo nakakasa nga bwebakutte Munnamaggye eyagawummula Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye ngo wakusimbibwa mu Kkooti y’amaggye e Makindye olunaku olwaleero avunaanibwe ku ssaawa ttaano. #ffemmwemmweffe
Poliisi etandise okuyigga Alien Skin – Luke Owoyesigyire
Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi etwala ettunduttundu ly’e Katwe ne Kabalagala bwetandise okunoonyereza ku kigambibwa okubeera ettemu omwafiiridde Tumwesigye Joram 28, nga mutuuze w’e Makindye mu Kampala. Luke era ategeezezza nti batandise okunoonyereza ku musango gw’obubbi wamu n’okulumya omuntu nga bino byabaddewo mu kiro kya 19-November abantu […]