Kitalo! 6 bafiiridde mu kabenje e Kakira
Kitalo! Abantu 6 bafiiriddewo mbulaga n’abalala 8 nebaddusibwa mu malwaliro ng’embeera mbi ddala takisi eyakazibwako erya Drone bwetomedde loole y’ebikajjo ebadde ku mabbali goluguudo ku luguudo lwa Jinja-Iganga e Kakira. Akabenje kagudde ku ssaawa nga mwenda ezookumakya Takisi nnamba UBP 574J ebadde eva e Iganga bweyingiridde loole y’ebikajjo nnamba UAF 333B. Aberabiddeko nagaabwe bategeezezza nti […]
Poliisi eyigga Omubaka John Kamara ku byokubba obululu e Kisoro – Elly Maate
Omwogezi wa Uganda Police Force owettunduttundu lye Kigezi Elly Maate, avuddeyo nategeeza nga bwebatandise omuyiggo gw’Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM owa Bufumbira North, John Kamara Nizeyimana, kubigambibwa nti yenyigidde mu kubba obululu ku Busanani polling station mu Disitulikiti y’e Kisoro. Maate agamba nti yadde okulonda kubadde kukkakamu, mubaddemu effujjo ttonotono erikoleddwa abawagizi […]
Uganda Cranes ne South Africa ziyiseemu okugenda mu AFCON e Morocco
Ttiimu y’Eggwanga eyomupiira ogwebigere Uganda Cranes eyiseemu okugenda okwetaba mu kikopo kya AFCON 2025 e Morocco. Uganda Cranes ne Bafana Bafana eya South Africa zeziyiseemu mu Kibinja nga wadde tebanasamba mupiira gwankya. #ffemmwemmweffe
Owa Independet awangudde akalulu e Kisoro
Akifeza Grace Ngabirano eyesimbyeewo ku Independent yalangiriddwa ngomuwanguzi ku kifo ky’Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kisoro, naddirirwa eyakwatidde ekibiina kya National Resistance Movement – NRM Rose Kabagenyi, Munnakibiina kya National Unity Platform Sultana Salim nakwata kyakusatu. #ffemmwemmweffe
Poliisi terina ttaka e Kanawataka – Minisita Mayanja
Lyabadde ssanyu nakujaganya olunaku lweggulo abatuuze okuva mu zone 5 bwebabadde bazzibwa ku ttaka lyabwe. Abatuuze mu Zone okuli; Katogo, Kiganda, Kasokoso, Kireka ne Kinawataka babadde bagobanyizibwa Uganda Police Force ngegamba nti bano besenza ku ttaka lyayo. Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyettaka Sam Mayanja yategeezezza abatuuze nti oluvannyuma lwa State House Anti Corruption Unit […]
Olukungaana lwa NUP e Nakasongola lugaaniddwa
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force n’amaggye bwebiyiye basajja baabyo nebalemesa olukungaana olubadde lulina okubeera mu Disitulikiti y’e Nakasongola nga bagamba nti olunaku lw’eggulo tebagoberedde biragiro ebyabaweebwa. Ategeezezza nti bayiye abasirikale ku nguudo zonna ezoolekera e Nakasongola. #ffemmwemmweffe
Twakola kinene okumatiza abantu okukiriza Bobi Wine – Mpuuga
Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Tekyali kyangu kukulembera Kibiina kipya nga ababaka ebitundu 90 ku 100 bonna bapya mu Palamenti nga bangi kubbo baali tebakikiriza nti baali batuuse mu Palamenti. Twakola okusalawo okutaali kwangu okuva mu Democratic Party netusalawo okutandika era netweyunga ku kibiina ekipya. Mu kaseera wetwaviirayo netutegeeza nti twali twagala okuwa Mw. Kyagulanyi (Bobi […]
Abakedde okwekalakaasa olwa EACOP bayooleddwa
Waliwo ekibinja ky’Abavubuka nga 15 abakwatiddwa Uganda Police Force mu Kampala bano nga bagamba nti balwanirira butonde bwa Nsi nga begattira mu “Students Against Eacop Uganda” Movement, nga babadde bekalakaasa nga bawakanya East African Crude Oil Pipeline (Eacop) mu maaso ga Palamenti. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe
Owa booda booda e Nansana atomedde abayizi bamukubye mizibu
Abatuuze e Nansana Kabumbi bavudde mu mbeera nebakuba omuvuzi wa booda booda ategerekeseeko erya Hassan naddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka nga bamulanga kutomera baana babiri ababadde bava ku ssomero. Abatuuze bategeezezza nti ono abadde avugisa kimama. #ffemmwemmweffe