Waliwo Baminisita abatulemesa okuganyulwa mu pulojekiti za Gavumenti – Bavubuka

Waliwo Baminisita abalemesezza okutongoza olunaku lwa Bishop Hannington – Archbishop Kaziimba

Archbishop The Most Rev Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu avuddeyo nalaga obwennyamivu eri Baminisita abamu balumiriza nti balemesezza ekirowoozo kyokutongoza olunaku lwa Bishop Hannington ngolunaku olwokuwummula mu Ggwanga. Archbishop Kaziimba bino abyogeredde Kyando mu Disitulikiti y’e Mayuge kukuza olunaku lwa Bishop Hannington olwategekeddwa Busoga Diocese. Archbishop ayongeddeko nti Baminisita bamo besomye okulemesa ekintu kyonna ekiva […]

Poliisi esabye ba blogger okutwala obujjulizi bwebalina ku musango gwa Hajat ne Hajji

Omwogezi wa Uganda Police Force ACP Rusoke Kituuma avuddeyo ku musango gwa Hajat ne Hajji, Hajat mweyaviirayo nanenya Poliisi obutamuyamba ng’omwana we asobozeddwako. Poliisi egamba nti baakola byonna ebigobererwa era omwana nalumiriza Hajji okumusobyako era bamuggyako sitaatimenti nebamutwala nebamukebera era nekizuulibwa nti omwana yali yegatta n’omuntu. Rusoke agamba nti ebirala byonna kati bisigalidde Kkooti okuzuula […]

Erik Ten Hag agobeddwa oluvannyuma lwa Manchester United okukubwa ggoolo 2 ku 1

Kkiraabu ya Manchester United evuddeyo netegeeza nga bwegobye abadde omutendesi waayo Erik Ten Hag Team. Erik yalondebwa okubeera maneja wa Kkiraabu eno mu April wa 2022 era ngasobodde okutuusa Man U ku buwanguzi bw’ebikopo 2 okuli ekya Carabao Cup mu 2023 ne FA Cup mu 2024. Man U emusiimye olwebirungi byebakoledde era nebamwagaliza obuwanguzi mu […]

Abalwanyisa ekyokuggyawo UCDA mulina Abazungu ababasasula – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nayanukula ku nsonga y’ebbago ly’ebyobulimi eryayisiddwa mu Palamenti naddala ku nsonga z’ekitongole ekirondoola omutindo wamu n’okulaakulanya ekirime eky’emmwaanyi mu Ggwanga ekya UCDA; “Mbalamusizza nnyo Bannayuganda naddala Abazzukulu, ‘Balenkanga bye basaanidde okukola, nebakola byebatasaanidde kukola, n’amazima tegali mu bbo.’ Abalina okunenyezebwa beebo abaleeta ebyokusosola mu mawanga ebyekisiru mu nsonga eno. Katikkiro […]

Poliisi ewaddeyo emirambo 11 eri ab’enganda

Olunaku olwaleero Uganda Police Force ewaddeyo emirambo 11 gyabantu abayokebwa omuliro mu njega eyaggwawo e Kigoogwa nga gibadde mu ggwanika e Mulago. Ssaabaminisita akiikiriddwa Minisita Omubeezi avunaanyizibwa kukulungamya Eggwanga Kabbyanga Godfrey Baluku, Assistant Inspector General of Police Dr. Moses Byaruhanga awaddeyo alipoota ekwata ku ngeri omulimu gwokuzuula ab’Enganda gyekwakoleddwamu. Dr Byaruhanga ategeezezza nti emirambo 24 […]

Bakansala ba KCCA 2 bakwatiddwa lwakwekalakaasa

Bakansala ba KCCA okuli; Moses Kataabu ne Faridha Nakabugo bakwatiddwa Uganda Police Force bwebabadde batwala ekiwandiiko kyabwe ekiraga obutali bumativu bwabwe ku bigambo ebyayogeddwa Sipiika Anita Among ku Buganda mukukuba akalulu ku bbago lyokuggyawo ekitongole kya UCDA. Bya Kayanja Nasser #ffemmwemmweffe

Minisita Nabakooba alagidde offiisa eyabuze ekyapa akwatibwe

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka Judith Nabakooba olunaku lweggulo yalagidde Uganda Police Force e Mukono okukwata omukozi mu Offiisi y’ettaka eya Mukono Zonal lands office ku kigambibwa nti yagajjala ku mulimu nabuza ekyapa ky’omuntu. Hanifah Nantongo yatwaliddwa ku Mukono CPS era Minisita namulagira asasulire okugoba ku kyapa ekipya. #ffemmwemmweffe

Loole yamafuta endala egudde e Kabale

Loole yamafuta endala ekutte omuliro mu Kyanamira Trading Center ku luguudo lwa Kabale-Mbarara mu Disitulikiti ye Kabale. Okusinziira ku OC Traffic owa Disitulikiti ye Kabale Mucunguzi Wilson agamba nti Ddereeva yagiddwa mu motoka eno naddusibwa mu Ddwaliro e Kabale ngali mu mbeera mbi ddala. Ayongeddeko nti mpaawo mutuuze yalumiziddwa mu kabenje kano. #ffemmwemmweffe

Abayizi 1644 batikkiddwa e Nkumba

Ku Ssetendekero wa Nkumba olwaleero abayizi 1644 bebatikiddwa ddigiri mu masomo agenjawulo ku matikkira ag’omulundi ogwe 26 era nga bano kubaddeko aba PHD, Masters, Ddigiti ne Dipuliima. Omukolo gukulembeddwamu Prof. Emmanuel Katongole ngono ye Ssenkulu w’ettendekero lino. Abayizi bakubiriziddwa okuteeka byebasomye munkola. Amatikkira gabadde ku Ssetendekero lye Nkumba erisangibwa e Nkumba mu Katabi Town Council. […]